Police mu Kampala n’emiriraano etandise okunoonyereza ku musajja gwekubye amasasi naafa nga addusibwa mu ddwaaliro, oluvannyuma lw’okulumba police ye Masanafu mu kiro ekikeesezza leero.
Police egamba nti omusajja ono yalumbye police ye Masanafu ng’alina amafuta ,kyokka abaserikale olwamulabye nebamubuuza gyalaga, kwekuyiwa amafuta nakolerezaawo omuliro.
Kigambibwa nti abaserikale olwamulabye ng’akoleezezza omuliro kwemumukuba amasasi okumumalamu amaanyi, oluvannyuma abaserikale nebazikiza omuliro ogwabadde gutandise okusasaana.
Amyuka Omwogezi wa police mu Kampala nemiriraano Luke Oweyisigire, ategeezezza nti omusajja ono afudde ng’atwalibwa mu ddwaliro e Mulago, era n’omulambo gwe gyegukuumibwa.
Bisakiddwa: Kato Denis