
Omukago ogutaba amawanga ga ssemazinga Africa ogwa African Union gukangudde ku ddoboozi, gulagidde amawanga ga Africa agaabadde gataddewo envumbo ku bantu abava mu South Africa n’ensi endala ku ssemazinga ono ezaazulibwamu akawuka ka Covid19 akeeyubulamu ekika kya Omicron virus okugyawo mbagirawo envumbo zino.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa omukago guno, kinyonyodde nti yadde omuwendo gw’abantu abazuulibwamu akawuka kano gweyongera buli olukya, teri mulwadde yenna yakakasiddwa nti akawuka kano kaamuse oba nti kaabulabe nnyo okusinga obulala obubaddewo.
Omukago gwa African Union gunyonyodde nti okussa envumbo ku ntambula z’abantu kirina kwesigamizibwa kukunoonyereza kwa science atanakolebwa, kale nga mu kiseera kino tekyetaagisa kussa nvumbo ku ntambula z’abantu.
Omukago gwa African Union gulabudde nti okuteeka envumbo ku ntambula z’abantu kigenda kukosa ebyenfuna byensi ezo ezitereddwako envumbo nokunyigiriza bannansi abawangaalira mu nsi ezo, mu kufuna ebyetaago byokutambuza obulamu obwabulijjo.
Kyakinyigiriza n’amawanga ago okufuna eddagala saako okulemesa bannascience mu nsi ezaazuula akawuka kano, okwongera okukanonyerezaako nti kubanga betaaga ebikosezebwa.
Omukago gwa African Union gulabudde nti okussa envumbo ku mawanga agaazuula akawuka kano kubanga kubabonereza okuzuula akawuka kano , ekintu ekiteeka ebyobulamu by’olukalu lwomuddugavu n’olwensi yonna mu mattiga.
Amawanga okuli agabulaaya, n’amalala ku ssemazinga wa Africa oluvanyuma lwa south Africa ne Botswana okulangirira nga bwezaali zizudde abantu abalina akawuka kano aka Omicron, zaateekebwaako envumbo era abantu n’ennyonyi ebiva e south Africa bibadde tebikkirizibwa kugenda mu Bulaaya nensi za Africa ezitali zimu.
Kino wekijjidde nga ne Uganda olwalweero erangiridde ng’akawuka ka Omicron bwekagobye mu ggwanga oluvanyuma lw’okuzuula abantu 7 abakalina, wabula nga tebanazuulibwamu buzibu bw’amaanyi.
Minisita w’eby’obulamu mu Uganda Dr.Jane Ruth Acheng agambye nti ku bantu bano 7, bataano baavudde Nigeria, ate ababiri baavudde South Africa.
Mu kiseer kino ensi 38 zezaakalangirira nti zaazudde akawuka kano aka Omicron.