Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu district ye Wakiso keyamye okuwagira ebbago erikyabagibwa erigendereddwamu bannauganda okubeera n’eddembe okulya emmere erimu ebiriisa erimanyiddwa nga Food and Nutritional Bill 2024.
Mu kiseera kino omubaka wa Kigulu South County Hon Milton Muwuma yatandika dda okwebuuza ku bannauganda kuteeka erigendereddwamu okusitula omutindo gw’ebintu bannansi byebalya wamu nebyokunywa .
Shafic Kagimu okuva mu kitongole kya FIAN UGANDA ekirwanirira eddembe ly’emmere asinziridde mu lutuula lwakakiiko kano ku Kolping Hotel e Makerere Kavule,nategeeza ng’eggwanga bweriri mu kaseera akazibu olw’emmere bannuganda gyebalya etatuukanye namutindo.
Agambye nti buli muntu akanya kulya kukutta kyoka nga ebirungo ebiteekebwa mubyokulya kkampuni ezikola ebyokulya tezifaayo kubinyonyola bantu .
Ssabaganzi Rebbecca Bukenya nga yakulira obutonde bwensi nobugaga obwensibo mu district ye Wakiso agamba nti bagenda kwongera amaanyi mu kulondoola amakkolero gonna agakola eby’okulya n’ebyokunywa okukakasa byebakola oba nga biri kumutindo.
Wabula ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye wamu ne Hadijja Nansubuga munamateeka mu kitongole kya PSD basabye government okufuna abakugu basomese abantu kungeri gyebayinza okwekuumamu ssinga obuzibu bubaggwira, nga besigama kunjega eyagwawo wiiki ewedde mu bitundu bye Kigoogwa ekimmotoka kyamafuta bwekyakwata omuliro ogwaviiriddeko abantu abasoba mu 25 okufa nga nabamu bakyapookyeza mu malwaliro.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo