Akakiiko keby`okulonda mu ggwanga aka Electoral Commission of Uganda, kongeddemu ennaku 7 mu nteekateeka z`okwewandiisa n`okukebeza enkalala z’abalonzi.
Ssentebe w’akakiiko keby`okulonda mu ggwanga Justice Simon Mugenyi Byabakama yalangiridde enteekateeka eno, ng`asiniza ku kitebe kyabwe mu Kampala.
Agamba nti ekibawalirizza okwongezayo ennaku, by’ebizibu ebiteebeereka byebasanze nga bakola omulimo guno, omuli okuba nebyuma ebikadde byabadde bakozesa ebibadde bifafa buli kadde, kyoka ate nga nabyo bibadde tebimala.
Byabakama agamba nti ennaku zino bwezigwako nga waliwo BannaYuganda abatewandisiza yadde okukyusa mu bifo by`ookulonda, tebagenda kwongerwa Mukisa mulala.
Ku nsonga y’abayizi abadda ku masomero nga tebanewandiisa, akakiiko kagenda kukwatagana namasomero abayizi bano bawandisibwe nga basinziira ku amasomero gabwe.
Justice Simon Mugenyi Byabakama agamba nti mu nnaku zino 20 zebawandisirizaamu, abalonzi ba Uganda beyongedde okuva ku bukadde 18,103,603 nebadde ku bukadde 19,925,574.
Ate nga abakyusiza ebifo mwebagenda okulondera bali emitwalo 290,221.
Bisakiddwa: Musisi John