Akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda kagobye okusaba okwatwalibwa eri akakiiko kano okuva eri ekiwayi kyabannaFDC ekituula ku Katonga road, mwebaali baagalira okutandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekiggya kyebaatuuma Peoples’ Front for Freedom ( PFF).
BannaFDC bano abakulemberwamu eyali akulembera oludda oluvuganya government mu parliament, Wafula Ogutu ,wiiki ntono eziyise, baatwala okusaba eri akakiiko k’ebyokulonda kabaterekere erinnya ly’ekibiina ki People’s Front for Freedom PFF, nakabonera ak’esssimu, saako langi eya bbululu n’enjeru.
Wabula mu bbaluwa akakiiko k’ekyokulonda gyekawandiise nga kaanukula bannaFDC bano abe Katonga,etereddwako omukono omuwandiisi w’akakiiko kano Leonald Mulekwa, akakiiko kebyokulonda kagambye nti erinnya BannaFDC bano lyebaalonda erya People’s Front for Freedom ,lirina engeri gyeryefaananyiriza ekibiina ky’ebyobufuzi ekirala ki People power Front PPF ekyasaayo edda okusaba kwakyo eri akakiiko k’ebyokulonda.
Akakiiko k’ebyokulonda era kabuulidde bannaFDC nti langi zebaalonda okuli eya bbululu ne langi enjeru, zefaananyiriza ez’ekibiina ki Forum For Democratic Change FDC.
Leonald Mulekwa omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda abuulidde bannaFDC ekibinja kye Katonga nti langi z’ekibiina kyebagala awamu nekibiina ki People’s Front for Freedom okuba nti byefanaanyiriza ebibiina ebirala, kiggya kuleetawo okubuzaabuzibwa mu bawagizi b’ebibiina ebyo.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi abuulidde CBS, nti akakiiko k’ebyokulonda kawabudde bannaFDC abekatonga amagezi, batereeeze ensonga ezanokoddwayo mu bbaluwa eyabawandiikiddwa.
Bagala bakyuuse langi z’ekibiina n’erinnya nga bagoberera okulambikibwa okuli mu tteeka erifuga okutondawo n’entambuza y’ebibiina by’ebyobufuzi erya Political Parties and Organisations Act 2005 , olwo baddeyo eri akakiiko kebyokulonda
Kinnajjukirwa nti emabega ko eyo, ekibiina ki UPC kyaliko mu kugugulana n’ekibiina ki National Unity platform ku langi z’ekibiina okuli emyufu ne langi enjeru NUP zekozesa, UPC zeyagamba nti zaayo.#