Akakiiko akenjawulo akaatereddwawo okukunya ba minister bonna aboogerwako nti begabanya amabaati agaali galina okuwebwa abantu be Kalamoja, katandiika leero okukola omulimu gwako ogw’okunonyereza ku ngeri ba minisita bano gyebafunamu amabaati gano.
Amabaati agoogerwako gaali gakuwebwa abakwata mmundu abaali babba ente ez’abantu mu bitundu by’e Karamoja, ng’omu ku kawefube eyali ow’okubasikiriza okuva mu bikolwa bino.
Akakiiko akassiddwawo okuli ba mbega ba police, abakozi okuva mu offiisi ya ssabawaabi w’emisango gya government, abakozi okuva mu kakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’obwa President n’aba offiisi ya kaliisoliiso wa government kaatandiikidde mu kuwandiikira ba minista bonna abagambibwa nti bebaafuna amabaati gano.
Abawandiikiddwa baweereddwa ekiseera buli minister kyalina okugenderako gyekali, ku kitebe kyekatadde ku police enoonyereza ku misango e Kibuli
Okusinziira ku mwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, omukulembeze w’eggwanga yabalagidde bakole okunoonyereza okumala era bakunye buli Minista eyafuna amabaati gano, bannyonyole engeri gyebaagafuna n’engeri gyebaagakozesaamu.
Abamu ku baminister abagambibwa okwegabanya amabaati am kuliko minister w’ensonga z’e Kalamoja Gorret Kitutu n’omumyuka we Agnes Nanduttu, minister omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi, minister w’ensonga za East Africa Rebecca Kadaga, minister w’ebyensimbi Matia Kasaija, sipiika wa Parliament Anita Annet Among, n’abalala.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico