Abayizi,abasomesa n’abakozi abalala ku ssomero lya St Jude SS Kyabakuza Masaka bakeeredde mukiyongobero, omu kubasomesa eyali mu kabenje ekaagwa e Kyalusowe ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala afudde.
Akabenje kano kaaliwo ku Sunday nga 13 August 2023, mmotoka ya takisi Drone No.UBJ 464 G eyali eva e Masaka bweyayingirira emmotoka endala Alphard UBG 143H omwali omuweereza ku Cbs Mbaziira Tonny n’omuyimbi Aidah Mugo baali bava Kampala nga badda Masaka.
Mu kabenje ako abantu 3 kwabo abaali mu Drone baafiirawo, abalala nebaddusibwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi, abamu nga bakutuse amagululu n’emikono.
Omusomesa afudde nga bukya ye Charles Walimbwa 26, abadde asomesa ku ssomero lya St Jude SS Kyabakuza Masaka eryo Owek. Mary Babirye Kabanda.
Okuva lweyafuna akabenje abadde tayogera ng’ajanjabibwa mu ddwaliro e Masaka, wabula embeera bweyagaanye okutereera n’asindikibwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago Kampala gy’afiiridde.
Omu kubasomesa Claire Nannyunja akola ku mbeera z’abasomesa ku agambye nti munabwe abadde yakutuka amagulu gombi nga yafuna n’ekiwundu ekinene ku liiso.
Enteekateeka zikolebwa ez’okuziika munabwe mu district ye Mbale.
Aberabirako ng’akabenje kagwawo bagamba nti waliwo omugoba wa boda boda eyali ayisa emmotoka endala (drone) ku mukono omukyamu, olwo owa drone bweyamuwugula ate naayambalagana n’emmotoka ya Alphard omwali Tonny Mbaziira (yasiibuddwa okuva mu ddwaliro ne Aidah Mugo (akyali mu ddwaliro).
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito