Omuzibizi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey’abakazi eya Crested Cranes, Aisha Nantongo, yegasse ku club ya Changchun Women Football club egucangira mu liigi ya babinywera eya China.
Aisha Nantongo okugenda e China avudde mu club ya Masar eya liigi ya babinywera eya Misiri, nga eno yazanyiddeyo season yonna ewedde.
Omuzannyi ono yabadde musaale nnyo mu kuyambako club ya Masar okuwangula omudaali gw’ekikomo mu mpaka za CAF Women’s Champions League season ewedde.
Agenze okuva mu club ya Masar nga ne munnauganda omulala Shadia Nankya naye yakava mu club yeemu okwegatta ku club ya Washington Spirit eya America.
Wabula mu club ya Masar wasigaddeyo munnauganda omulala omu Phiona Nabulime eyavudde mu club ya Kawempe Muslim Ladies eya FUFA Women’s Super League.
Aisha Nantongo agenze e China, wano mu Uganda yava mu club ya Kawempe Muslim Ladies mweyava okugenda e Misiri.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe