Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Paul Joseph Put, alangiridde ttiimu y’abazannyi 28 egenda okuzannya ne South Africa wamu ne Congo Brazaville mu mpaka za Africa Cup of Nations qualifiers eza 2025.
Omutendesi Paul Joseph Put, ttiimu eno agirangiriridde ku kitebe kya FUFA e Mengo mu Kampala.
Ttiimu eriko abakwasi ba goolo 3 okuli Ismael Watenga, Alionzi Nafian ne Charles Lukwago.
Abazibizi kuliko Kenneth Ssemakula, Timothy Awanyi, James Begesa, Azizi Kayondo, Joseph Ochaya nabalala.
Abawuwuttanyi kuliko Saidi Mayanja, Ronald Ssekiganda, Travis Mutyaba, Khalid Aucho, Joel Sserunjogi nabalala.
Abateebi kuliko Steven Mukwala, Muhammad Shaban, Allan Okello, Jude Ssemugabi, Dennis Omedi nabalala.
Uganda Cranes mu mpaka zino eri mu kibinja K ne South Africa, Congo Brazaville ne South Sudan.
Uganda egenda kusooka kuzannya ne South Africa nga 06 September,2024 eSouth Africa ate ezeeko Congo Brazaville nga 09 September mu kisaawe e Namboole.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe