Abatemu balumbye amaka gabaddemu abantu 6 nebabaatemaatema, 4 babasse, 2 bali mu mbeera mbi.
Bino biri ku kyalo Bukomba mu district ye Luweero.
Ettemu lino kigambibwa nti lyandiba nga lyariwo mu kiro ekyakeesa ku Thursday, nti kubanga emirambo gisangiddwa gitandise okuvunda.
Akulira ebyokwerinda mu district ye Luwero Richard Ntulume agambye nti balina abaana babiri bebasuubira abayinza okuyambako okutegeeza Police ebyabaddewo.
Wabula okusoomoozebwa okuliwo kwekuba nti abaana bato, nti ate okuva lwebaalabye nga bazadde babwe battibwa, byeboogera tebikwatagana, ate nga bakyali bagonvu nga bateeberezebwa okuba mga bakoseddwa enjala.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif