Oludda oluvuganya government mu ggwanga lwabandiba lupondoose ku nnongosereza ezeetaagibwa okukolebwa mu ssemateeka w’eggwanga namateeka agafuga ebyokulonda mu ggwanga, ng’akalulu ka 2026 tekanatuuka.
Abamu ku bakulembeze b’oludda oluvuganya government bagamba nti obudde bwandiba bugenze, tekikyaasoboka kwanjula nnongosereza zino mu parliament nezikolebwako.
Mu mwaka 2023, kinnajjukirwa nti eyali akulira oludda oluvuganya government Owek Mathias Mpuuga Nsamba yakungaanya ab’oludda oluvuganya government mu ggwanga ku Common Wealth resort e Munyonyo ,okukubaganya ebirowoozo ku nnongosereza ezeetaagibwa okukolebwa mu mateeka gano.
Wabula obukulembeze bw’ekibiina ki National Unity Platform bwayimiriza enteekateeka eno, nti ennongosereza mu mateeka gebyokulonda teziggya kukola nga government ya NRM ekyali mu buyinza.
Mu kiseera kino government ya NRM erina ennongosereza mu mateeka zekyekenneenya zeyagala okwanjula mu parliament saawa yonna, zino nga zezaanyiziza ab’oludda oluvuganya government wabula nga nayo terina nteekateeka yonna yakwanjula nnongosereza okwanganga ezo eza government
Ssaabawolereza woludda oluvuganya government mu parliament Wilfred Niwagaba agamba nti obudde buyise obw’okwanjula ennongosereza zino, wadde nga bazimanyi bulungi nti zetaagisa.
Nampala wa FDC mu parliament Yusufu Nsibambi agambye nti embeera nga bweri tebakyategera bigenda mu maaso, olwa NRM okuvuga eggwanga nga bweyagala, kati baasigala kutunula butunuzi okutuusa ensi lwenanunulwa
Ssabawandiisii wa Jeema Mohammed Katerega ye obuzibu abutadde ku kibiina ki NUP ekikulembera oludda oluvuganya government, ekyalemererwa okukulemberamu enteekateeka y’okubaga ennongosereza mu mateeka agafuga ebyokulonda.
Mu kiseera kino Commissioner wa parliament Owek. Mathias Mpuuga Nsamba naye aliko ebbago lyateekateeka okwanjula mu parliament essaawa yonna, eririmu ennoongosereza mu mateeka agafuga ebyokulonda, eggwanga bweriba lyakufuna akalulu akaliko yadde yaddeko
Owek Mpuuga Nsamba gyebuvuddeko yategeeza eggwanga nti abooludda oluvuganya government okwogera obwogezi ku nnongosereza zino nokuvumirira akakiiko kebyokulonda nga tewali nnongosereza zonna zanjuddwa eri parliament sikituufu.
Ezimu ku nsonga ezetaaga okulowoozebwako kuliko okuzzaawo ebisanja by’obukulembeze bw’eggwanga mu ssemateeka w’eggwanga, saako emyaka gy’omukulembeze, ennonda yaabo n’ebirala#