Ab’oludda oluwakanya government mu Parliament beweze okufaafagana n’okulemesa Parliament okuyisa etteeka ly’ennoongosereza mu nnambika y’eggye ly’eggwanga, erya UPDF amendment bill 2025.
Ababaka 30 ku babaka 109 abali ku ludda oluwakanya government mu parliament, bebeetabye mu nsisiinkano eyitiddwa akulira oludda oluwakanya government okuttaanya ku ngeri gyebalina okukwatamu etteeka lino singa linaaba lireeteddwa mu parliament olunaku lw’enkya nkya ku Tuesday nga 20 May,2025.
Sipiika wa parliament Anitah Annet Among yasindika ebbago lino eri obukiiko bwa Parliament 2 okuli ak’ebyokwerinda n’akebyamateeka okubaako obuwaayiro bwebeetegereza, n’oluvanyuma bakomewo ne alipoota enambulukufu, n’oluvannyuma banjule alipoota eri parliament.
Akulembera oludda oluwabula government Joel Ssenyonyi ng’era yabakulembeddemu ategezezza nti tebagenda kuzira lutuula lwa parliament omugenda okwanjulirwa etteeka lino nga bwekibadde kikolebwanga.
Ssenyonyi agambye nti bagenda kukozesa amaloboozi gaabwe okulemesa etteeka okuyita.