Etteeka erirungamya ku nnima saako endabirira, entunda n’ensuubula ya Vanilla eryayisibwa district y’eKalungu litandise okukola mu butongole, wakati mu balimi ba Vanilla okwekokkola okudondolwa olwa bbeeyi ya Vanilla eri wansi.
Etteeka lino district y’eKalungu yaliyisa mu December wa 2023, lyateekeddwa mu Gazette oluvannyuma lwa solicitor general okulikakasa.
Mu nteekateeka eno eyokuyisa etteeka lino district y’eKalungu eyambiddwako ekitongole ki Catholic Relief service.
Mu tteeka lino buli mulimi wa Vanilla e Kalungu alina okuba nga yewandiisizza so nga abasuubula Vanilla e Kalungu balina okubeera ne license okuva ku district ebakkiriza okugula Vanilla mu district eno, era bagenda kuteekawo ebifo ku miruka ebimanyiddwa nti webagulira Vanilla.
Abamu ku balimi ba Vanilla e Kalungu basinzidde ku kitebe kya district eno mu kutongoza etteeka lino nebalisanyukira nti ligenda kubawonya abaguzi ba Vanilla ababadde babadondola.
Kintu Musa akulira ba Agent b’abasuubula Vanilla e Kalungu ayagala enteekateeka eyokuwandiisa abalimi ba Vanilla ekolebwe government, mu kifo ky’abagula Vanilla nga bwekikolebwa mu kiseera kino.
Etteeka lino era likugira abalimi ba Vanilla obutamutunda ku Sunday era Godfrey Omuluga okuva mu Catholic Relief Services abawomye omutwe mu tteeka lino, agamba nti kino kyagendereddwamu okuziyiza ababbi n’agamba nti ku Sunday bank abalimi mwebatereka ensimbi tezikola.
Akulira ekitongole kya district y’eKalungu ekyebyobulimi Kiyemba Paul asabye abalimi ba Vanilla e Kalungu okuteekawo ebibiina mwebeegattira.
Rdc wa Kalungu Dr Paddy Kayondo asabye abalimi ba Vanilla okukuuma omutindo gwekirime kino.#
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru