Abazigu abebijambiya balumbye ekifo ekikuumibwamu ebidduka mu kiro nebatta omukuumi, kigambibwa banyaze ne pikipiki ezisoba mu 10.
Bibadde mu zone eyitibwa Kubuyinja, ku kyalo Nkumba Central ku luguudo olugenda ku mwalo e Kasenyi mu bitundu bye Ntebe.
Nansubuga Winfred
Attiddwa ye Roland Byamugisha abadde akuuma ebidduka mu parking ya mukyala Nansubuga Winfred.
Abatuuze bagamba nti bawulidde okulwanagana okw’amaanyi ku ssaawa nga 11 ng’obudde bukya nebakubira ssentebe w’ekyalo ye Peter Mponye olwo naye nakubira police yoku Bayitaababiri.
Atwala police Atusingwize Eston waatuukidde n’abasirikale be ng’abazigu bamaze okutta omukuumi nga bakuuliise n’ezimu ku pikipiki.#
Bisakiddwa: George William Kakooza
Ba