Police erabudde ku bikolwa ebyábazadde abasajja abeeyongedde okukabassanya abaana bebeezaalira, nga ebikolwa bino bisinze kuva ku butabanguko mu maka.
Ebikolwa bino tebikomye kulabikira mu bazadde bokka, bigenze ne mu basomesa bábaana abato mu primary ne siniya, ekyongedde okuteeka obulamu bwábaana mu katyaabaga.
Alipoota ya policr eraze nti mu district ye Bukedea eriyo musajja mukulu Emong James akwatiddwa oluvannyuma lwokukkakana ku muwalawe gw@azaala naamukabassanya.
Ate mu town councilye Kaliisizo mu district ye Kyotera waliwo omusomesa Mugumya Silver emyaka 24, akwatiddwa oluvannyuma lwokukabassanya omwana gw’asomesa naamufunyisa olubuto.
Mu district ye Tororo omusajja Musabe Emmanuel owemyaka 40 aggaliddwa oluvannyuma lwOkukkakkana ku muwalawe gwazaala naamutunuza mu mbuga ya Sitaani.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti okunoonyereza ku bikolwa eby’ekko eby’ekikula kino kwongeddwamu amaanti, era abazze babyenyigiramu bagenda kukwatibwa bavunaanibwe.
Bisakiddwa: Kato Denis