Abayizi b’essomero lya Mpondwe Lhubiriha secondary School Kasese 37 battiddwa mu bulumbaganyi obubakoleddwako abateebeezebwa okuba abayeekera ba ADF.
Essomero lino liri mu kitundu kye Mpondwe kilometre 2 okuva ku nsalo ya Uganda ne Democratic Republic of Congo, mu muluka gw’e Nyabugando mu gombolola ye Karambi mu district ye Kasese.
Omubaka wa government e Kasese Lt Joe Walusimbi agambye nti ab’ebyokwerinda bakyakola butaweera okusobola okununula abayizi 6 abawambiddwa.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa eggye ly’eggwanga erya UPDF, abateeberezebwa okuba abayeekera ba ADF babadde 5 abalumbye essomero nebasanjaga abayizi n’abalala bookeddwa, saako okunnyaga emmere omuli akawunga n’ebijanjaalo.
Abayizi 3 basangiddwa bali mu mbeera mbi ddala, baddusiddwa mu ddwaliro lya Bwera hospital.
Enjega afanaanako bweti yaliwo mu mwaka gwa 1998, abayeekera ba ADF bwebaalumba ettendekero lya Kichwamba Technical Institute mu district ye Kabalore, nebatta abayizi 80 , abalala 100 bakuuliita nabo.#