Abayizi bana bakakasiddwa nti baafiiriddewo mbulaga oluvanyuma lw’emmottoka ey’ekika kya Sino truck namba UBL 790J okuwaba nekiyingirira essomero lya Kasaka Secondary School mu Gomba.
Abafudde kuliko Asege Hilda S.5 ,Mawanda Bosco S.2, Namagembe Eva S.4 ne Sserwanga Louis S.2.
Emmotoka eno ebadde yetisse omusenyu ng’eva Mityana ng’edda mu tawuni ye Kanoni mu Gomba eremeredde omugoba waayo neyingirira essomero lya Kasaka Secondary School erisangibwa mu town council ye Kanoni mu district ye Gomba.
Bino bibaddewo mu nkuba ebadde etonnya abayizi babadde mu kibiina nga basoma essomo lya computer.
Emmotoka eno eya Sino truck eyingiridde ebibiina bisatu nebigwira abayizi n’abasomesa, era abasoba mu 20 basigadde banyiga biwundu ate ebintu by’essomero ebiwerako nebyonooneka.
Kiviiri Godfrey ssentebe wa district ye Gomba agambye nti abayizi abawerako n’abasomesa babiri baddusiddwa mu malwaliro.
Omuduumizi wa police mu bitundu bya Katonga etwala Gomba, Hiriga Dauda agambye nti ddereeva w’emmotoka eno Wannume Abdallah akwatiddwa, era akuumibwa mu kaduukulu ka police.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico