Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibuuzo eby’akamalirizo mu ggwanga ekya UNEB, kirangiridde nti abayizi ebitundu 98% kwabo abaatula ebibuuzo mu 2024 mu curriculum empya bayise ebibuuzo, era bakweyongerayo ku mutendera oguddako ogwa S.5 oba mu matendekero ag’emikono.
Abayizi emitwalo 359,417 bebeewandiisa okutuula ebibuuzo, abayizi emitwalo 350,146 ebibuuzo babiyise ate abalala 9,271 bbo bAagudde era baakubiddamu.
Okusinziira ku Dan Odongo, ssenkulu wa UNEB, ebibuuzo bino byatunulidde nnyo engeri abaana gyebabiddamu nga babijjuza, ssonga saako obubonero bwebazze bafuna okuva mu S.3 bwongerezeddwako ku bubonero obw’enkomeredde bwebafunye.
Obubonero bw’omuyizi bwafuna okuva mu S.3 bukola ebitundu 20 % ate bwakolera ku bibuuzo eby’akamalirizo bukola ebitundu 80%.
Dan Odongo bw’abadde asoma ebyavudde mu bibuuzo omwaka guno, agambye nti abayizi ebitundu 98% bonna baakufuna amabaluwa agabongerayo.
Abayizi abawala baakoze bulungi okusinga abalenzi mu masomo omuli oluzungu, okusiiga ebifaananyi, n’ebyediini, ssonga abalenzi bakize abawala mu masomo geebya science gonna.
Abayizi baakoze bubi nnyo essomo lya Biology, Chemistry ne Physics era nga kinajjukirwa nti Physics lyerimu ku masomo abasomesa gebeekalakaasiza nga bagamba nti okuligolola kyali kyeetagisa ensimbi eziwera kwezo ezaabaweebwa.
Odongo agambye nti abayizi abamu balemererwa okudamu ebibuuzo, nga tebategedde byebababuuzizza, obutaba nabikozesebwa bimala nebirala.
Minister omubeezi oweebyenjigiriza avunanyizibwa ku matendekero agawaggulu Dr JC Muyingo, agambye nti ebibuuzo bibawadde amaanyi okwongera okutumbula ensomesa empya, naatendereza UNEB olw’enteekateeka ennungi, ebasobozesezza n’okutuuka ku kkula ly’okufuna engule ekakasa omutindo gwebyo byebakola ey’ensi yonna.
Bisakiddwa: Ddungu Davis