Abayizi emitwalo 142,009 aba S.6 bebagenda okutuula ebigezo bya UNEB eby’omwaka guno 2024, ebitandise olwaleero, era ebigenda okusalawo ebiseera byabwe eby’okweyongerayo mu matendekero agawaggulu.
Essomo ly’olupapula lw’ebyafaayo (History) mu masomo ga Arts, ne Mathematics mu masomo ga Science, gegagguddewo ebibuuzo ebisoose nga 11 November,2024.
Abayizi abeewandiisa okukola ebigezo ku mutendera guno abalenzi baakize ku bawala obungi bali 80,041 ate abawala bali 61,968.
Abayizi abaliko obulemu ku mutendera guno bali 405.
Ebigezo bino babbituulidde mu bifo 2,634 okwetoloola eggwanga lyonna.
Abayizi abagenda okutuula ebya UACE omwaka guno beeyongeddeko n’ebitundu 28.4% bwogerageranya nabatuula eby’omwaka ogwayita 2023, baali emitwalo 110, 579.#