Bya Lubega Mudashiru Kyewalyanga
Embeera ezeemu okutabuka ku muliraano mu Democratic Republic of Congo, abayeekera ba M23 bazzeemu okulumba bannansi mu bukiika kkono bw’ensozi Sabinyo, nebezza ekitundu ekyo.
Kitegerekese nti abayeekera ba M23 balumbye eggye lya government ya DRC erya FARDC mu bitundu okuli Runyonyi, Kyanzo, Bugusa ne Kyengerero,kirometer nga 4 okuva ku ensalo ya Bunagana mu North Kivu e Congo ne batandika n’okuwamba abantu ba bulijjo.
Ensonda zitegezeza nti abayekera balumbe bannansi wakati we saawa kumi ogw’ekiro ne kumi na bbiri nga busaasaana, era bannansi abafunye webayita tebalinze binaddirira nebetegula ekibabu.
Abasinze okuyingira Uganda bakyala na baana, so ng’abasajja naddala abavubuka abasinga baawambiddwa abayeekera.
Agavaayo gagamba nti ebikumi n’ebikumi bya`bantu babulijjo abasukka mu mitwalo 30,000, webuzibudde nga gwemuwendo gwa babuddabunda abakakasibwa okwesogga Uganda, nga bava mu Democratic Republic of Congo .
Omubaka wa president mu district ye kisoro ,eri ku nsalo ya Uganda ne Congo ,Capt Peter Mugisha agambye nti embeera nzibu nnyo, olwa bannoonyi bobubuddamu abeyongedde okweyiwa mu Uganda okutaasa obulamu bwabwe.
Captain Mugisha ategezeza cbs radio yobujjajja nti ebitongole ebikuuma ddembe okuva e Congo ne Uganda byonna bikwatidde wamu okuzza embeera mu nteeko.
Wabula kitegerekese nti n’ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku nsonnga z’abanoonyi b’obubudamu ki United Nations High Commission for Refugees kitandise okuggya ababundabuda bano ku ensalo ye Bunagana webabadde bakungaanidde.
Batwaliddwa mu kifo awakuumibwa ababundabunda e Nyakabande settlement camp.
Minister omubeezi owebigwa tebiraze Davinia Esther Anyakun agambye nti bakusisinkana na bakwatibwako bonna okulaba engeri gyebakwatamu embeera y’ababundabunda bano.
Agambye omuwendo ku mulundi guno gususse obungi,ku gwa bulijjo oguyingira mu Uganda buli olutalo werubadde lubalukawo mu DRC.
Okuva mu 1998 abayeekera ba M23 bazze batanula ennumba ezenjawulo mu DRC,abantu ba bulijjo bikumi na bikumi nebasigala nga babundabunda, nga kwotadde n’ebibinja by’abayeekera ebirala ebyekweka mu bibira bwaguuga n’ensozi ebiri mu ggwanga eryo.