Banna mukisa babiri bawangudde buli omu obukadde bwa shs mukaaga n’emitwalo asatu( shs 6.3m) mu kazannyo ka Ssabula Bbingo.
Omumbejja Luwedde Sarah omutuuze w’e Kansanga yeeyasoose okuwangula obukadde 6.3 M ku makya mu Pogram ya Bwakedde Mpulira, eweerezebwa Hajji Abu Kawenja.
Agambye nti okulemerako n’obunyiikivu byebimuyambye kuwangula era yeeweze okusigala ng’azannya akazannyo ka Ssabula Bbingo.
Agambye nti ensimbi zino zongedde okumuwa essuubi n’okusitula ebyenguna ye.
Mukasa John Omutuuze w’e Nansana Gganda ye muwanguzi owokubiri eyawangudde obukadde 6.3 M mu Program ya Township Tunes eweerezebwa Mbaziira Tonny ne Sofi Tebbi.
Akulira ekitongole ky’emitimbagano gya Cbs Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja y’abakwasizza ceeke zabwe ku Masengere.












