Abawagizi b’ekibiina kya FDC ekiwayi kye Katonga road abawera 36 basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira, oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’obutujju.
Abavunaanibwa kuliko abasajja 34 n’abakazi 2.
Omaulamuzi wa kooti ye Nakawa Elias Kakooza, olumaze okubasomera omusango tabaganyizza kubaako kyebogera, nti kubanga omusango gwabwe gwa nnaggomola gulina kuwulirwa kooti enkulu, era n’abategeeza nti bwebaba bakusaba kakalu,gyebalina okukasaba.
Oludda oluwaabi lugamba nti ng’ennaku z’omwezi 22 ne 23 July,2024, abavunaanibwa bano 36, bekungaanya nga bava mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo, neboolekera Kisumu ekiri mu Kenya n’ekigendererwa eky’okutandika okutendekebwa obutujju.
Omuwaabi wa government Richard Birivumbuka agambye nti bakyalina bingi byebakyanoonyereza ku bavunaanibwa bano.
Basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 31 July,2024.
Wabula abakulembeze ba FDC e Katonga bagamba nti ba memba babwe baali bagenze kwetaba mu musomo ogukwata mu bukulembeze bw’abavubuka n’ebyempuliziganya, ogwali gutandika nga 23 July okutuuka nga 30 July,2024, ku ttendekero ly’eby’obukulmbeze erya Ukweli Pastoral and Leadership Centre e Kisumu Kenya.
Bisakiddwa: Betty Zziwa