Olukiiko oluddukanya liigi y’ababinywera eya Uganda Premier League luzeemu okukola enkyukakyuka ku mupiira ogugenda okubeera wakati wa Wakiso Giants ng’ettunka ne Express FC mukwano gwabangi.
Omupiira guno mu kusooka, Uganda Premier League yabadde eraze nti gwakubeerawo nga 19 November,2023 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu, wabula kati gugenda kubeerawo nga17 mu kisaawe kye kimu.
Abakulembeze ba Wakiso Giants baawandiikira Uganda Premier League, nti ekisaawe kya Kabaka Kyabaggu kirina emikolo emirala egigenda okubeeramu nga 19, olwo omupiira kwe kukyusibwa okudda nga 17.
Mu kusooka omupiira guno gwalina kuzannyibwa nga 1 November,, kyokka gwayimirizibwa olwa FUFA okuyisa ekiragiro eky’okuyimiriza emipiira egya Express, olw’ebikolwa ebyefujjo ebyakolebwa ku ddifiri Fahad Ssekayiba, abateberezebwa nti baali ba Express.
Nga ennaku z’omwezi 27 October,2023 abawagizi abateberezebwa okubeera aba Express baateega ddifiri Fahad Sskayiba ne bamukuba emiggo oluvanyuma lw’omupiira ogwazanyibwa kwolwo,ĺUPDF mweyalemagana ne Express goolo 1-1, era okuva olwo emipiira gya Express gibadde gyayimirizibwa.
Abawagizi abateberezebwa okwenyigira mu ffujjo lino, okuli Noah Mukenya ne Sulaiman Zimula, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento e Matugga, era omulamuzi abasindise mu kkomera e Luzira bakomewo mu kkooti nga 28 omwezi guno ogwa November babitebye.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe