Enteekateeka z’Empaka z’Omupiira gw’Amasaza ga Buganda ez’akamalirizo e Namboole zabbugumu nnyo, wakati wa Buddu ne Kyaggwe abagenda okwambalagana.
Abawagizi okuva e Buddu ne Kyaggwe bonna bawaga okutwala ekikopo kino, era nkumi na nkumi z’abawagizi zisuze kumpi n’Ekisaawe kye Namboole.
Oluguudo lwe Masaka lukwatiridde mmotoka eziyingira ekibuga Kampala, nga abawagizi baagala batebuke Kyaggwe eyeesomye okukeera okujjuza ekisaawe ky’e Namboole, nti Buddu egende okutuuka nga kijjudde.
Tikiti z’Okulaba Omupiira wakati wa Buddu ne Kyaggwe webwazibidde olwajjo ng’ebifo gyezibadde zituundibwa zaaweddeyo.
Minister w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga asabye abantu ba Kabaka okwetegereza Obulungi emiryango egiri ku ticket zaabwe, baleme kukaluubirizibwa nga bayingira
Omwami wa Ssaabsajja amukulembererako essaza Buddu Pookino Jude Muleke asabye abantu ba Kabaka abakozesa Enguudo ezenjawulo obutakola ffujjo liyinza kuvaako bubenje.
Omwami wa Kabaka atwaala essaza Kyaggwe Ssekibobo Vicenti Matovu Bintubizibu ategezeza nti bataddewo entambula ey’obwerere eri abawagizi abagenda e Namboole, era n’abasaba bakeereko.
Amyuuka omwoogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwaano Luke Oweyisigire ategeezezza nti abasirikale ba police y’ebidduka bayiiriddwa mu bungi ku nguudo eziyingira ekibuga, naalabula abavugisa effujjo naabo abaagala okukozesa mmotoka ezitakkirizibwa kutikka bantu nti bano bakuvunaanibwa.
Nga omupiira guno tegunnatandika wakusookawo omupiira wakakti wa Kyaddondo ne Buweekula, okufunako anatwaala ekifo ekyokusatu , nga guno gwakutandika ku ssaawa ttaano ezenkya.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe