Wofiisi ya ssabawaabi wa government ng’eri wamu n’Ekitongole kya bambega, etandise kaweefube w’Okulwanyisa ebikolwa eby’Obumenyi bw’Amateeka ebiyinza okweyolekera mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo, mu kwetegekera okulonda kwa bonna okugenda okubaawo mu mwaka 2026.
Mu nkolagana eno abakungu mu bitongole byombiriri omuli abawaabi ba government ne ba Mbega ba government ku mitendera egyenjawulo, bakwesogga akafubo okusalira awamu amagezi ku bikolwa eby’Obumenyi bw’Amateeka, nga ensisinkano eno yakubeera ku kitebe kya bambega e Kibuli, nga 4-5 September,2024.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya bambega ekikulu e Kibuli, Ssabawaabi wa gavumenti Omulamuzi Jane Francis Abodo, ategeezezza nti ssinga ebitongole byombiriri tebisalira magezi buzzi bwa misango, eggwanga lyakutabanguka mu by’Enfuna ne mu mbeera z’Abantu.
Omwogezi wa police Kituma Rusoke, annyonyodde nti Abakungu mu bitongole byombiriri abasukka mu 600 bebasuubirwa okweetaba mu nsisinkano eno, , era nga Omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni, yasuubirwa okuba Omugenyi Omukulu.
Ensisinkano eno wetuukidde nga negyebuli eno wakyaaliwo abantu abali mu Makomera, oluvannyuma lw’Okweetaba mu bumeyi bw’Amateeka obwaali mu kalulu k’Obwa president akaakubwa mu mwaka 2021.
Bisakiddwa: Betty Zziwa