Akulira akakiiko kabamusiga nsimbi mu Maka g’obwa President aka State House Investors Protection Unit Col Edith Nakalema asabye abavubuka abayina byebayiiyizza naddala mu science naye nga tebanafuna ssente zibiteeka mu nkola, okwewandisa mu ministry ye Science ne Technology, ebirowoozo byabwe bisobole okuumibwa eri banakigwanyizi obutabibabbako.
Col Nakalema agamba nti Uganda erina abayiiya bangi ate ng’abasinga baana bato abetaaga obukuumi bwabwe, okulaba nti ebirowoozo byebalina tebibbibwa bantu ababasinga ssente.
Nakalema ategezezza nti abavubuka bano bwebewandisa, ministry ya science ne Technologiya egyakukuuma bulungi ebirowoozo byabwe, oba olyawo n’okubakwatirako okubisitula.
Bino Col Edith Nakalema abyogeredde ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo, mu lukuηaana lwa Science week olugenda maaso, era nga lwakukomekkerezebwa ku lwokutaano olwa wiiki eno, bwabadde ayogerako ne bannamawulire.
Agambye nti bakusigala nga bawa obukuumi obwetagisa bwonna eri bamusiga nsimbi, okulaba nti tebabbibwa banakigwanyizi basobole okwongera okutondawo emirimu.
Minister wa Science ne Technologiya Dr Monica Musenero asinzidde Kololo nategeeza nti bakukozesa ministry yabwe okusitula ebirowoozo bya bannascience mu ggwanga lyonna.
Dr Musenero agambye nti ne kakuyege akyagenda mu maaso okwongera okumanyisa abantu obulungi obuli mu science,era nakakasa nti abavubuka abanewandiisa ne ministry bajja kulaba engeri gyebayinza okubakwatirako okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.#