Abavubi ku mwalo gwe Waluumbe mu gombolola ye Bukatuube mu district ye Mayuge bali mumaziga, banaabwe 2 bagudde mu Nnyanja Nalubaale nebafiiramu.
Kasibali John ne Tiifu Isabirye babadde bagenze ku nnyanja kuvuba, akaato ekika kya Bbawuttatu mwebabadde basaabalira omuyaga gukakubye nekababbika mu Nnyanja.
Ssentebe w’ekitundu Okwi Nelson agambye nti emirambo gy’abagenzi gyizuuliddwa negyinnyululwayo mu mazzi.
Bisakiddwa: Kirabira Fred