Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu district ye wakiso kasabye parliament wamu nebitongole by’ebyokwerinda omuli police n’amagye okussa essira kukulwanyisa ettemu ly’emmundu eryeyongedde mu ggwanga.
Mu district y’e Wakiso mu bbanga lya wiiki emu abantu 3 bebattiddwa bamukwata mmundu ku nsonga ezitanategerekeka.
Eyakasembayo ye mukyala Nalwanga Jackline owemyaka 35 eyakubiddwa ebyasi ebyamusse ku kya Nakabugo mu district ye Wakiso, ab’ebyokwerinda bwebaabadde bakola ebikwekweto.
Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye asabye parliament ne president Museven okubaako kyebakola ku ttemu ly’emmundu n’abantu abazzenga battibwa bafuna obwenkanya.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo