Abasuubuzi mu Kampala abegattira mu bibiina ebyenjawulo bayimiriza akediimo ,akokuggala amadduuka gabwe oluvannyuma lw’okusisinkana Ssaabaminister ne ssabapolice wa Uganda.
Baabadde baagaggadde okulaga obutali bumativu bwabwe olwa president Yoweri Museven okusazaamu ensisinkano yabwe eyabadde ey’okubaawo nga 31 July,2024, era nga babadde bawezezza ennaku bbiri nga maggale.
Ssaabaminister abasisinkanye n’abawooyawooya era n’abasuubiza nti government ensonga zabwe egenda kuzikolako.
Omwogezi w’ekibiina ekya KACITA Issa Ssekitto ategezezza CBS nti oluvannyuma lw’okukkaanya ne Ssabaminister,bafulumizza ekiwandiiko ekisaba abasuubuzi obutaddamu kuggala madduuka bagumiikirizeeko, ng’ensonga zabwe bwezikolebwako.
Mu nsisinkano yeemu eno Ssekitto agambye nti nebannyini bizimbe banenyezza abakulu mu government abagunjaawo ebibiina by’abasuubuzi ebyabwe nebaleetawo entalo mu basuubuzi ekiviirako ne banyini bizimbe okubuzabuzibwa ekibiina kyebatambula nakyo.
Okuva mu mwezi gwa April 2024, abasuubuzi bazze bekalakaasa nga bavumirira enkola ya EFRIS eyassibwawo URA,n’ekigendererwa eky’okukaka abasuubuzi okukola alisiiti by’amaguzi byebatunda nga ziyita mu byuma bi kalimagezi ebisobola n’okubala omusolo oguggibwa ku buli kintu ekituundibwa.
Presidebt Museven yasooka n’abasisinkana mu May, n’abasuubizza okuddamu okubasisinkana mu June nekitasoboka, era nga yabadde alina okubasisinkana ku nkomerero ya July nekigaana, ekyatabudde abasuubuzi nebaddamu okweddiima.#