Enkaayana n’okweyogerera amafuukule bibaluseewo mu mukago ogutaba abasomesa ogwa Uganda Humanities Professional Teachers Union, oluvanyuma lwensisinkano ya President Museveni naabakulembeze baabasomesa bano ku byokubongeza emisaala.
Obutakaanya buno buva ku basomesa abamu okugamba nti banabwe babaliddemu olukwe era nti abamu bbo ssibakuddayo ku masomero wadde nga babadde basabiddwa okuddayo.
Abasomesa nga bakulembeddwamu Ndawula Robert, omukwanaganya waabasomesa mu bendobendo lye Wakiso, bagamba nti ssibakukkiriza kuddayo kusomesa nga governmen tebawadde kyebazze basaba okumala omwezi omulamba.
Waliwo Abasomesa abaalangiridde nti bakaanyizza okuyimirizaamu akeedimo kaabwe kebabaddeulmu okumala omwezi mulamba, oluvanyuma lwokusisinkana omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni.
President bano yabasuubizza okubongera omusaala okutandika mu mbalirira y’omwaka gwebyensimbi ogujja, 2026/2027, era nga wakubongeza ebitundu 25% okumala emyaka 4, era nga kumpi buli mwaka baakwongezebwako emitwalo nga 50 ku misaala.
Okusomesa asookerwako owa diploma wakusasulwa waakiri akakadde kamu nekitundu, owa degree waakufuna obukadde 4 nekitundu buli mwezi ssonga omukulu w’essomero afuna obukadde 6 nekitundu.
President Museveni era yabasuubizza okubazimbira ebisulo ku masomero ga Seed governmeny geezimbye kibayambeko okufuna webasula okuliraana amasomero.
Mutesasira Francis, Ssaabawandiisi w’omukago ogutaba abasomesa bano, ategezezza Cbs nti president era yabasuubizza nokubawa obuwumbi 20 mu SACCO yaabwe, era zzo bakuzifinirawo mu mwaka gwebyensimbi guno ogwakatandika.
Agamba nti baabasaliddeko ne ku misolo gyebabalina okusasula era nakino kitandikirawo omwaka gw’ebyensimbi guno, era nti naabaana babasomesa bakusomera bwereere okutuuka okumalako University.
Mutesasira agambye nti abasomesa abatakanya nabyasakiddwawo boolekedde kulekulira busomesa, nti kubanga enkola ey’okuteesa ebyo byeyabasobozesezza okuggyayo nga bwebalinda government okubituukiriza mu bbanga lya mwaka gumu.
Absomesa b’amasomo ga Arts bazze bemulugunya kati emyaka 4, olwa government okubasosola neyongeeza aba science omusaala aba Arts nebaleka emabega.
Bisakiddwa: Ddungu Davis