Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala Paul Ssemogerere awadde Abadyankoni 8 Obusaaserdooti n’Abasebinaalio 10 abawadde omuluka ogwa Obudyankoni mu lutikko e Lubaga.
Ssaabasumba ababuuliridde okugoberera byokka Eklezia Katulika by’ayigiriza era babitambulireko n’okubiyigiriza abantu gyebanaaweerereza.
Abasabye bulijjo okutabeera n’amalala n’okutambula n’abantu bebaweereza kyokka nga tebatwalirizibwa bitaliimu.
“Musigale n’ensi naye mwewale okutwalirizibwa eby’ensi n’endowooza yaayo”
Mu ngeri yeemu Ssaabasumba asabye Abakristu okusabira ennyo abasaaserdooti abaggya n’abakadde baweereze bulungi, babaagale ate n’okubassaamu ekitiibwa.
“Ndaba mwenna abakungaanye wano olwaleero, musabire nnyo Abasaaserdooti bano, Omukama beyeebonaanyizza n’abalonda bamuweereze ku Altaali ye, mubaagale nga baganda bammwe, mubasseemu ekitiibwa naye mu byonna mubasabire nnyo”
Ssaabasumba asabye ab’enganda zabasaaserdooti abatuuse ku kkula lino, obutababinika mitawaana gyona naddala nga babakaabira ebizibu mu kino na kiri.
“Abasaaserdooti bano, mubaleke baweereze Omukama, tebalina ssente”
Abaweereddwa Obusaaserdooti ye; Rev Fr. Charles Kamya okuva mu Naddangira Parish, Rev Fr. Cosmas Ssegawa okuva e Nabbingo, Rev Fr. Denis Kirya okuva e Nsambya, Rev Fr. David Samuel Kawuki okuva e Jinja Kalooli, Rev Fr. Henry Ssemakula okuva e Nnaddangira, Rev. Fr. Joseph Katende okuva e Ndejje, Rev Fr. Martin Kiggundu okuva e Gayaaza ne Rev Fr. Timoth Matovu okuva e Bujuuko.
Bano bonna baakusoma Emmisa zaabwe embereberye ku Sunday nga 13 August,2023 mu maka ga bakadde baabwe.
Abaweereddwa Obudyankoni ye; Rev Dcn. Achileo Mukaaya, Denis Ssennyondo, Deogratius Alule, John Baptist Matovu, Henry Kalanzi, Joseph Kiwuuwa, Marvin Lukyamuzi, Victor Ssemwogerere, Richard Sserugo ne Edward Ssonko.
Emmisa eno yeetabyemu Abasaaserdooti b’essaza ekkulu Kampala, n’okuva mu masaza amalala, n’abakristu abagijjuza munda n’ebweru.
Mu ngeri yeemu omwepisikoopi w’essaza ly’e Masaka Bishop Serverus Jjumba awadde Abadyankoni 20 Obusaaseredooti, n’abasebinalio 16 abawadde Obudyankoni.
Omukolo gubadde mu lutikko e Kitovu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.