Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga aka Uganda Electoral Commission kakomekkereza omulimu gwókusunsula abegwanyiza ekifo kyóbubaka wa parliament owa Omoro county.
Ekifo ekyo nkyekyalimu eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah eyava mu bulamu bwensi eno.
Abasunsuddwa Odongo Terence atalina kibiiina kwajidde, Onen Jimmy Walter naye talina kibiina,Tolit Simon wa NUP, Andrew Ojok Oulanyah owa NRM, ne Kizza Oscar wa ANT, FDC ereese Justin Odongo.
Dick Denis Owani FDC gweyali esoose okuwa kaadi teyasunsuddwa, nga kyategerekese nti yawambibwa ng’ava ku Radio emu, era alumiriza nti abaamuwamba baamututteko ebiwandiiko bye ebyenkizo, byeyabadde alina okukozesa okwewandiisa.
Wabula abamu ku bakulu mu kibiina kya FDC bino babiwakanya bagamba nti yandiba nga yaguliddwa okuva mu lwokaano luno, nti kubanga tanavaayo kutegeeza bakulu mu kibiina ebyabaddewo.
Omubaka wa Chwa West Paul Okin Ojara munnaFDC akuliddemu kakuyege wa FDC mu kitundu kye Omoro , agambye nti ekibiina kibadde kirina okusala amagezi okufuna omuntu omulala.
Justin Odongo asimbiddwawo FDC akalulu ke kamusubye era siwakulonda olw’obutabeera mulonzi wa kitundu kye Omoro County gyeyeaimbye.
Moses Kagona akulira ebyokulonda mu district ye Omoro yakuliddemu okubasunsula abantu bano omukaaga abesimbyewo, okudda mu kifo ekyalimu eyali sipiika Jacob Oulanyah.
Okunoonya akalulu kutandika ku bbalaza ejja nga 16 may,2022, ate okulonda kubeewo nga 26 may,2022.
Omwogezi wákakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga Paul Bukenya asabye abesimbyewo okukoma ku bawagizi babwe obutakola fujjo, okulonda kusobole okuggwa emirembe.