Abantu basatu bafiiridde mu kabenje ka mmotoka ekika kya taxi namba UAX 303 F akagudde e Mijeera ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.
Abafudde abatannamanyika mannya kubaddeko abakyala babiri n’Omwana omuto.
Emmotoka ya taxi mwebabadde basaabalira eyabise omupiira n’eremerera omugoba waayo neyefuula emirundi egiweze.
Mmotoka eno ebadde eva Masindi ng’edda Kampala.
Ayogerera police y’ebidduka Faridah Nampiima agambye nti ababaddewo ng’akabenje kagwawo, bategezezza nti emmotoka ebadde ewenyuuka buweewo, era bweyabise omupiira neyefuula emirundi mingi.
Mu ngeri yeemu emmotoka kika kya Mark X eyingiridde eddwaliro lya Kasenge Health Centre II mu Kyengera town council abasawo n’abalwadde basimattuse okufiiramu.
Emmotoka eyiye ebisenge by’eddwaliro lino, n’okwonoona eddagala, wabula tewali alumiziddwa.
Alipoota ya police y’ebidduka yalaze nti wiiki ewedde yokka, abantu abasukka mu 70 bebaafiridde mu bubenje obutali bumu okwetoloola eggwanga, naye ng’obuzibu buva kukuvugisa kimama.