Abantu abasoba mu 20 bateebeeezebwa okuba nga bafiiridde mu nnyanja Nalubaale, abalala basimattuse.
Eryato kwebabadde basaabalira likubiddwa ejjeengo olwo nebatandika okuwandagala nga bwebagwa mu mazzi.
Babadde bava ku mwalo gwe Ntuuwa Lwanabatya mu ssaza lye Kyamuswa e Kalangala, babadde bagenda Kasenyi mu gombolola ye Katabi mu Wakiso.
Abantu abataasiddwa batwaliddwa ku mwalo gwe Nsazi mu district ye Mukono.#