Ekitongole ekidduukirira abeetavu n’abagudde ku buzibu ekya Uganda Redcross society, kyakazuula abantu 6 abafiiridde mu kubumbulukuka kw’ettaka mu gombolola ye Murora mu district ye Kisoro.
Abantu 5 babadde banju emu ku kyalo Biizi n’omulala omu ku kyalo Gihuyaga.
Enjega eno evudde ku nkuba efudemba obutasalako mu kitundu ekyo, eyaviiriddeko ettaka okubumbulukuka ku lusozi neriziika amayumba omufiiridde abantu, n’abalala nebasigala n’ebisago.
Irene Nakasiita ayogerera Uganda Redcross society agamba nti omuyiggo ku abantu abalala abayinza okuba nga baaziikiddwa eytaka mu kitundu gukyagenda mu maaso.#