Ak’akiiko k’eby’okulonda mu kibiina kya FDC e Najjanankumbi kakawandiisa abantu 6 okuvuganya ku kifo kyákulira abavubuka mu kibiina.
Abakewandiisa kuliko Abeneitwe Manful, Adepo Francis, Nakabira Swabrah, Ocieng Boniface, Okori Brian ne Okot Fredrick Nauries.
Akakiiko kekamu kakawandiisa abantu 2 okuvuganya ku kifo kyákulira abakyala mu FDC okuli Achan Hellen ne Kisakye Agnes.
Sentebe w’akakiiko k’ebyokulondamu FDC Toterebuka Boniface Bamwenda bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi agambye nti begwanyiza ebifo byombi bakusunsulwamu nga 18 October,2023, ate enkeera nga 19 October,2023 kwekulonda.
Ebifo ebirala ebitanaba kusunsulwamu kuliko ekya Ssabwandiisi w’abavubuka n’abakyala, sabakunzi n’abamyuka ba sentebe ku mitendera gyombi, omuwanika n’ebifo ebirala.
Bisakiddwa: Kiyengo David