Police e Masaka ekutte abantu 4 ku bigambibwa nti bayina kyebamanyi kunfa y’abantu 5 aba famile emu.
Ekikangabwa kino kyaliwo Nga 24 omwezi gwa June omwaka guno 2023, abantu ab’amaka gamu ku kyalo Kijonjo mu Gombolola y’e Buwunga bwebaatemulwa.
Kuno kwaliko Ssemaka Emmanuel Muteesasira, Proscovia Ndagaano, Shivan Nakasagga Robert Kayemba ne Beatrice Nakalyango.
Okusinzira ku police kati yakakwata abolunganda 2 nga yasooka ku kwata Vicent Samula kati bongeddeko owoluganda omulala Nowerina Nassiwa myaka 18 kwossa nabatuuze abalala 2 nebaweza omuwendo gwabantu bana abakakwatibwa kutemu lino.
Omwogezi wa Police mu Greater Masaka Twaha Kasirye ategezezza nti okunonyereza ku ttemu lino kukyagendera ddala mu maaso.
Bisakiddwa: Derrick Jjuuko