Abantu 3 bataasiddwa okuva mu mugga Nyamwamba mu district ye Kasese, nga bano baabadde bagudde mu mazzi g’omugga guno ogwabooze negusalako amakubo.
Abannyuluddwayo kigambibwa nti bakozi mu kirombe kya Kirembe Mines LTD.
Entambula esannyaladde mu District ye Kasese oluvanyuma lwómugga Nyamwamba okuddamu okubooga era batuuze ku bya
alo ebisoba mu 10 tebakyasobola kutambula.
Okusinziira ku alipoota ye kitongole kya Uganda Redcross, abatuuze ku byalo okuli Nyakasanga, Kamwirikwizi,Salut A and B,Mawa Market, Kitoro,Kisagazi ne birala betaaga okusengulwa amangu olw’amazzi nga námayumba agasinga gali kubwerinde.
Akulira ebyempuliziganya mu kitongole kya Red Cross John Cliff Wamala agambye mu kiseera kino babakanye n’eddimu ly’okusengula abantu abasoboka olwe mbeera etabuse mu kitundu kino.
Bisakiddwa: Ssebuliba William