Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Mbarara -Bushenyi, mmotoka ezibadde zifuumuuka obuweewo bwezitomeraganye.
Mmotoka ezivuddeko akabenje kubaddeko No. UBK 951Q kika kya Toyota Hiance ne UAX 318V grand mark ll ne UAZ 899J.
Kigambibwa nti akabenje kano kavudde ku mugoba wa mmotoka ya mark ll abadde ava e Bushenyi ng’agenda Mbarara, emmotoka bwemulemeredde ng’asala ekinnya ,kwekwambalagana n’emmotoka endala ebbiri.
Omwogezi wa police y’e bidduka Micheal Kananura agambye nti 3 bafiiriddewo, ate 7 bafunye ebisago eby’amaanyi.
Abakoseddwa ebaddusizza mu ddwaliro lya Mbarara referral Hospital n’emirambo negitwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro eryo, ate emmotoka nezitwalibwa ku police ye Kashaja.