Abantu 2 bafiiriddewo n’omulala omu nakosebwa bya nsusso mu kabenje akagudde e Mbulamuti ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli.
Mmotoka loole Canter etanategerekeka nnamba yetomedde abantu basatu ababadde batambulira ku ppiki Bajaaj Boxer namba UGC728 B.
Aberabiddeko nagaabwe bagamba nti omugoba wa Boda n’omusaabaze omu bebafiiriddewo, ate omwana omuto naddusibwa mu ddwaliro e Kamuli ng’ali mu mbeera mbi.
Police emirambo egiggyewo negitwala mu ggwanika e Kamuli.#
Bisakiddwa: Kirabira Fred