Ssabawaabi w’emisango gya government Jane Frances Abodo agyeko emisango gyokukusa n’okutulugunya omwana egibadde givunaanibwa abaagalana 2 nga Bannansi ba America.
Kino kiddiridde Mackenzie Leigh Spencer ne bba Nicholas Scott Spencer okukkiriza omusango, ne b’asaba babasalireko ku kibonerezo basobole okulabirira omwana gwebaatulugunya.
Mu nzikiriganya eno ereeteddwa mu kkooti omuwaabi wa government Lilian Omala, ssabawaabi wemisango gya Government akkiriza okubaggyako emisango egyasooka, wabula nabateekako omusango omupya ogwokuyisa obubi saako nokulagajjalira omwana gwebaali balabirira.
Emisango gino emipya gigenda kubasomerwa mu butongole mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu ewuliriza emisango egiri ku mutendera gwensi yonna Alice Komuhangi Khauka.
Emisango egireebukanya bano kigambibwa wakati wa December 2020 ne December 2022, abagaalana bano, baatulugunya omwana owemyaka 10 gyokka nga munnauganda gwebaali balabirira mu maka gabwe e Naguru ekyamuviirako okuzingama.
Omwana ono naye asuubirwa okuleetebwa mu kkooti balebe embeera gyalimu mu kiseera kino.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam