Enteekateeka ya Ssemasomo w’Abalungamya b’okumikolo ow’omulundi ogw’okutaano agguddwawo n’omulanga eri abalungamya okwettanira okusoma ebikwata ku buwangwa n’ennono za Buganda, olwo lwebanaakola omulimu ogubaweesa ekitiibwa n’okukuuma ennono za Buganda nga tezityoboddwa.
Ssemasomo ono abumbujjira ku ttendekero lya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mmengo.
Ssenkulu walyo Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu mu bubaka bwatisse avunaanyizibwa ku by’ensoma Ssaalongo Apollo Kaggwa, agambye nti ng’ettendekero bakoze enteekateeka y’okusomesa olulimi Oluganda eri buli muyizi ayita mu ttendekero eryo, era nti banaatera okutuuka ku mutendera gw’enteekateeka ogusembayo babiweereze ab’akakiiko akasengeka eby’ensoma mu ggwanga, kabakkirize Oluganda lubeere lwabuwaze eri abayizi bonna abayitira mu ttendekero eryo.
Ategeezezza nti kino bakikola okubaako ettoffaali lyebateekawo naddala mu kaweefube w’okukuuma Olulimi Oluganda nga lutinta.
Ssentebe w’abalungamya b’emikolo mu Buganda, Ismail Kaggya yeeyanzizza Ssaabasajja okusiima n’akkiriza ettendekero lye okuwanga abalungamya ebbaluwa entongole ezibakakasa mu mulimu guno.
Kaggya agambye nti ku mulundi guno, mu Ssemasomo bataddemu n’akanyomero ak’okubangula bakatumwa, abasimbiddwamu ennyo olunwe lw’okukola ebitajjansa mu mikolo gy’okwanjula.
Agambye nti kino kigenda kubayamba okubatereeza bakole ebisaana era ebitaweebuula kitiibwa kya nnono za Buganda.
Ssemasomo ono waakumala ennaku bbiri akomekkerezebwa nga 24 April,20204, ng’ebimu ku bisomeseddwa olwaleero mulimu; Entambuza y’omukolo gw’okukyala, okwanjulwa n’okwanjula, Ennungamya y’emikolo mu bitundu ebiri ebweru wa Buganda, Obuvunaanyizibwa bw’omugabe ne Katikkiro mu mukolo gw’okwanjula, Enkozesa y’Olulimi n’ensonga endala.
Mu bakulembeddemu abasomesa, kuliko Hannington Ssonko Kavi Ssembatya, Byaruhanga Zirimala, Omuzira mu Bazira wa CBS Omulangira Kayemba Kayiraan, Daniel Matovu Kkutuza ne Ahamed Lumu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K