Abalamazi beyongedde obungi ku biggwa ky’abajulizi e Namugongo eky’abakatuliki n’abakristaayo.
Abasinga obungi basuze mu byangaala, n’obunnyogovu obuvudde ku nkuba efuuyiridde emisana ga leero.
Abatunda amatundubaali,manvuuli n’obuveera babadde ku mugano olwa leero.
Enkuba bwetandise abalamazi abasangiddwa nga basaba mu bifo ebyenjawulo,abasinga bagenze mu maaso n’okwegayirira omutonzi tebaseguse okutuusa lwekedde.
Okutwaliza awamu embeera eri e Namugongo ya kwebaza, kusinza,kusaba,kwegayirira, n’okutendereza omutonzi.
Abalamazi abamu balabiddwako nga bekutte ku bibumbe by’abajulizi nga babasaba babawolereze eri omutonzi
Abalamazi abazze okulembeka ensimbi nabo gyebali mu bungi.
Ebifaananyi : Musa Kirumira