Omujulizi Yowana Maria Muzeeyi ye mujulizi eyasembayo okuttibwa nga 31 January, 1887.
Ekiggwa kye kiri mu Kisenyi okuliraana akatale ka St.Balikuddembe akaayitiwanga Owino.
Kigambibwa nti Yowana Maria Muzeeyi mu kuttibwa yatemwako omutwe,negusuulibwa mu lusaalu amazzi negagutwala.
Ekitundu ky’omubiri gwe ekirala kyalekebwa awo ensega nezikirya, okutuusa lwekyaggwawo.
Mu kifo ensega wezaamuliira wewaazimbibwa entaana ye.

Ate ewaali omwala ogwakuluggusa omutwe gwe waazimbibwawo oluzzi, abakkiriza webagenda nebesenera ku mazzi ago agaatukuzibwa era negafuuka ag’omukisa.
Olugendo lw’okulamaga okuva ku kiggwa ky’abajulizi e Munyonyo kukomekkereza ku klezia ya St.Matia Mulumba ku Old Kampala.

Matia Mulumba ye mujulizi eyali asinga obukulu yalina emyaka 50 egy’obukulu.
Yattibwa nga 30 May,1886.
Mu kifo weyattibwa waIiwo klezia eyitibwa Matia Mulumba ku Old Kampala.
Ebifaananyi: Musa Kirumira