Abakyala 5 aba FDC ab’ekiwayi kye Katonga balemereddwa okutwalibwa mu kooti nga bava mu komera e Luzira, olw’obutaba na ngoye zakwambala.
Abataano bano okuli omumyuka wa Mayor wa Kampala Doreen Nyanjula, baakwatibwa wiiki emu emabega nebasindikibwa ku alimanda mu komera e Luzira, oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okweyisa mu ngeri etasaanidde.
Okukwatibwa baali bekalakaasa mu Kampala nga bambadde obujoozi obwa bbululu obuwandikiddwako ebigambo ebigamba nti “Munzite mutaase Dr. Kiiza Besigye “.
Oluvannyuma lwa wiiki namba nga bali mu komera, babadde balina okuleetebwa mu kooti ya Buganda road, wabula abakulira amakomera nebategeeza nti abavunaanibwa babadde tebalina ngoye zibasobozesa kugenda mu kooti, nti kubanga obujoozi bwebaabakwatiramu bwokka bwebabadde balina ate nga tebateekeddwa kububaleeteramu.
Omulamuzi Winnie Nankya abadde alagidde bassibwe ku mukutu gwa Zoom, bawulirize ebigenda mu kooti nga bayita kumutimbagano, wabula abasibe bakigaanye nga bagamba wadde ku zoom bagyakuba bai bwereee.
Omualmuzi alabye guli gutyo kwekulagira bazzibwe mu kooti nga 10 March,2025, ng’abeηanda zabwe babaleetedde ennyumba.
Bisakiddwa: Betty Zziwa