Abasirikale ba kampuni y’obwannanyini abakuuma ebifo ebyenyawulo mu Kaliisizo town council mu district ye Kyotera abawera 18 bediimye bagamba nti babanja omusaala gwa myezi 4.
Obudde bw’okunnyuka n’okuzaayo emmundu wekutuuse, beremye nebagaana okuzizzaayo saako n’okugaana okwambulamu uniform, ekireeseewo akasattiro.
Muhammad Musanje agambibwa okuba nga yakungaanya sente mu bantu ababeera bagala okubakuumira amaka oba ebifo ebyenjawulo atuuse ku police y’e Kaliisizo nebamukunya ku nsonga eno, n’oluvannyuma nebamuta, n’abakuumi oluvannyuma bakkiriza okuzzaayo ebikozesebwa#