Ebyama bizuuse ku by’amaguzi by’ebicupuli ebikwatibwa ekitongole ky’eggwanga ekirondoola omutindo gwebyamaguzi ekya Uganda National Bereau of Standards (UNBS) abakozi babyezza nebaddamu okubitunda.
Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Uganda National Bureau of Standards Charles Musekura abikudde ekyama nti ebyamaguzi eby’ebikyupuli saako eby’omutindo ogw’ekiboggwe, ebikwatibwa ekitongole kino nebisiindikibwa e Luweero okusaanyizibwawo, tebituuka Luweero abakozi b’ekitongole kino babikomya mu kkubo nebabikomyawo mu katale.
Charles Masekura asinzidde mu kakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government aka Cosase akakulirwa Joel Ssenyonyi, bw’abadde ayanukula ebibuuzo ebikwata ku by’amaguzi eby’epicupuli ebisusse ku katale ka Uganda.
Agambye nti UNBS yakwatagana n’ekitongole ky’amagye ki National Enterprise Corporation NEC okusaanyaawo ebyamaguzi ebibeera bikwatiddwa ekitongole kino, okuli ebyomutindo ogw’ekiboggwe, nti wabula bwebisimbula okuva mu materekero g’ekitongole okutwalibwa e Luweero okusaabyizibwawo, bikoma mu kkubo.
Charles Masekura abuulidde akakiiko nti ekitongole kino ki Unbs tekirina busobozi bumala obuwerekera abakozi b’ekitongole kino nga batwala ebyamaguzi bino e Luweero okusanyizibwawo ,omuwaatwa guno abakozi gwebakozesa okukkomyawo ebyamaguzi bino ku katale.
Ku bifo 180 ebirina okubeerako abakozi abekebejja omutindo gw’ebyamaguzi ebiyingira eggwanga, abakulu mu UNBS bagambye nti ebifo 30 byokka byebirimu abakozi ,ebifo ebisigadde 150 tebirinamu bakozi abekebejja omutindo songa naabo abaliyo balyake babbaluwa.#