Ba ssentebe ba District mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bagala government okukyusa abakozi baayo bonna okubazza ku nkola eya Contract,nti kubanga enkola eyókuweebwa emirimu okwólubeerera yandibaa ng’evaako bangi okutandika okudibaga emirimu,ekikosezza obuweerezza bwa District ezisinga mu ggwanga.
Office ya ssabaminister mu Alipoota y’enzirukanya y’emirimu eyómwaka 2022 gyeyafulumizza ku buweereza bwa District zonna mu ggwanga, yalaze nti District nnyingi ziddiridde mu kutuusa obuweereza ku bantu bwogerageranya ne nómwaka 2021.
District ye Wakiso yaddiridde okuva mu kifo ekya 21st mu 2021 nedda mu kifo kya 27th omwaka 2022.
Mpigi eyali mu kifo 4th mu 2021 yazze mu kifo kya 48th.
Rakai eyali mu kifo ekya 14th mu 2021 yazze mu kifo kya 62nd mu 2022.
Municipality y’e Makindye ssabagabo eyali mu 12th yaddiridde mu kifo kya 67 omwaka 2022.
Abamu kuba ssentebe ba District ezómubuganda nga bakulembeddwa Ibrahim Kitatta ssentebe wa District ye Lwengo, Rev Peter Bakaluba Mukasa Sentebe wa District ye Mukono, eyali ssentebe wa District ye Mubende Francis Kibuuka Amooti nábalala bagamba nti okulwa mu bifo okutaliiko kuvuganya mu bakozi ba government kwekuviriddeko okuddirira mu District ezisinga.
Omuteesiteesi omukulu mu Ministry y’ensonga za bakozi Catherine Bitalakwate ategezezza nti bakizudde nga district ezimu zaakoze bubi olwa bantu abatali batuufu abateekebwa mu bifo ebyenkizo, kyokka nga ekizibu kiva kubakulembeze abagabira emirimu abegenganda zabwe n’emikwano awatali kutunuulira bukugu bwabwe.
Wabula wofiiisi ya Ssaabaminister nayo yawadde ensonga y’abakozi abawerako okuba bakuuma bukuumi ebifo ebyo, ekitabawa.buyinza bujjuvu kukola mirimu gyabwe nga bwekisaanidde.#
Bisakiddwa: Ssebuliba William