Abakozi ba bank enkulu eya Uganda n’aba ministry y’ebyensimbi 9 bwakwtiddwa Ekitongole kya police ekinoonyereza ku misango ki CID ku byekuusa ku bigambibwa nti balina kyebamanyi ku vulugu eyakolebwa mu kubuzaawo obuwumbi bwa shs obusoba mu 60 okuva mu bank of Uganda, mu dollar ya America bwe bukadde nga 16.
Kigambibwa nti Bank of Uganda yasasula ensimbi ezisukka mu buwumbi 60 eri akawunta enkyamu okuva kwezzo kwezalina okugenda, era kino kyasitula amaloboozi ga bannauganda abaweerako nga bebuuza engeri kino gyekyakolebwamu.
Embeera eno yawaliriza akakiiko ka parliament akalondoola emirimu mu bitongole bya Government aka COSASE okuyita abakungu banka enkulu okwenyonyolako, bakulemberamu omumyuka wa banka enkulu Micheal Eting Ego.
Kitegerekese nti abakwatiddwa mulimu omubalirizi w’e bitabo omukulu mu ministry y’e by’ensimbi, nabakulu abalala.
Okusinzira ku police abakwatte kuliko Ssemakula Lawrence, Tonny Yawe, Kusiima Debula, Muhurizi Jeniffer, Mubarrack Nsamba, Lumala Paul, Betina Nayebare ,Kasuku Mark ne Ashaba Judith.
Police egamba nti bano bakugiyambako mukunonyereza kweriko.
Abawate batwaliddwa ne mu maka gabwe negekebejjebwa okwongera okukuηaanya obujjulizi obuyinza okubayamba okujjuza fayiro ezigenda mu kooti.
Ensonda era zitegezezza CBS nti basuziddwa mu budduukulu bwa police okuli police ye Kira ne Nateete okutusa olunaku olwenkya.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusooke Kituuma agambye nti bakyalina n’abakozi abalala abaklyanoonyerezebwako.