Olunaku lwa leeoro nga 01 June,abayisiraamu lwebajjukira abajulizi abasiraamu, okwawukanako n’abakatuliki wamu n’abakristaayo abalukuza nga 03 June buli mwaka.
Abasiraamu banjudde enteekateeka mwebagenda okuyita okulakulanya ekifo kyabwe ewattibwa abajulizi abasiraamu e Namugongo.
Mu kifo kino waliwo omuzikiti e Namugongo nga kyabaweebwa eyali omukulembeze wa Uganda Idd Amin Dada nga 10 August,1975.
Abasiraamu batandise okukungaanira ku muzikiti guno, okusabira abantu babwe.
Ssentebe wa Uganda Muslim Supreme Council Prof Badru Kateregga agambye nti batadde essira ku kusomesa abantu okutegeera nti waliwo n’abasiraamu abattibwa, kibasobozese okukikulakulanya.
Agambye nti balina nekkatala ery’okuwandiika ebyafaayo byonna ebikwata ku bajulizi bano abasiraamu, abantu bongere okubategeera,ate n’okufuula ekifo ekyo eky’ebyobulambuzi.
Agamba nti abasiraamu bangi ba Shuhadau abaafa olw’eddiini yabwe wano mu Uganda, nga kyandibadde kirungi okubasabira nga bweguli ku bantu abalala.
Abasiraamu abattibwa olw’eddiini yabwe wano mu Uganda abajjukirwa n’okusabirwa olwaleero bakunukkiriza mu 100.
Bano battibwa wakati wa 1872 – 1876.
Prof.Kateregga agambye nti ebbanga liyise ddene nga babadde tebayogerwako, ng’abattibwa olw’eddiini yabwe.
Prof Kateregga agamba nti abasiraamu emu ku nsonga ebagaana okwogera ku basiraamu bano kwekuba nti ab’eddiini endala bagenda e Namugongo okulamaga olw’abantu babwe, songa ate abasiramu bbo tebalamaga mu kifo kirala kyonna okuggyako e Mecca.
Prof Kateregga annyonyodde nti abajulizi abo oluvanyuma lw’okujeemera Ssekabaka Muteesa 1 omwali okuva ku kwambala embugo nebasalawo okwambala engoye za ppamba, nti kuba baali basiramuse saako okugaana okusaalira emabega wa Kabaka Muteesa 1 olwokuba teyali mutayirire, nti bye bimu ebyabaviirako obuzibu okutuuka okuttibwa.
Mu nteekateeka y’okubasabira olwaleero omubadde n’okulambika ebyafaayo by’ensonga eno, omumyuka ow’okusatu owa Ssabaminister wa Uganda, Hajjati Lukia Nakadama, ategezezza abasiramu abakunganidde ku Namugongo Masgid Noor okujjukira abajulizi,nti government yetegese ekimala okukola ku nsonga zabwe ekifo kino nakyo kikulakulanyizibwe.
Regional Khad w’ebendobendo lya East Buganda, Sheik Mustaf Khamis Lule, alambuludde nti kyebakoze ssi kulamaga,wabula kujjukira bajjulizzi nakumanyisa ebyafaayo by’eddiini y’obusiraamu mu ggwanga.
Sheik Sulaiman Musana Kawanguzi, akulira ebya pulotoko okuva ku kasozi Kampala mukadde ku Uganda Muslim Supreme Council, (IMSC), agambye nti ekifo kino kyankizo nnyo mu basiraamu era kyakwongerwamu amaanyi.